Kawandabigambo  golola Moses ‘Of  Uganda’ akeesezza Hamza Keeya ‘General Fungu’ ensambaggere n’akkiriza.

Olulwana luno lwabaddewo mu kiro ekikeesezza olw’okubiri December nga 27, 2022.

Lutojjeredde ku Akamwesi Mall e Kyebando ekisangibwa ku Gayaza Road nga lwetabiddwaako nnamungi w’omuntu.

Golola aluwangulidde ku bubonero 49-46, 50-45 ne 47-48. Battunkidde mu buzito bwa ‘middle’ kkiro 79 mu nnwana ya K1 Style omuli okukozesa tteke, ebikonde n’amaviivi.

Lwetabiddwaako bassereebu okuli abayimbi Pallaso, John Blaq, Catherine Kusasira, Zex Birangirangi, Judith Heard ow’emisono n’abalala.

Ku lulwana lwe lumu kubaddeko fayinolo ya liigi y’eggwanga ey’ebikonde emanyiddwa nga UBF Boxing Champions League.

Mu nnwana ezisinze okukwata akati kubaddeko olwa Isaac Zebra Ssennyange Jr awangudde Muzamir Ssemuddu ku bubonero 3-2 kyokka abawagizi balwanye nga bawakanya ebisaliddwaawo baddiifiri be balumirizza okubbira Ssenyange Jr.

Ssenyange Jr. ye mutabani w’omugenzi Zebra Ssennyange. Mu nnwana endala Ukasha Matovu akubye Owen Kibira ku bubonero 4-1. Jonathan Kyobe n’akuba Derrick Mubiru ku bubonero 5-0, Joshua Tukamuhebwa amezze Edward Kimera ku bubonero 5-0 n’endala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *