Micho alangiridde abazannyi 35 abagenda okwetaba mu mpaka za AFCON.

0

Abazannyi ba ttiimu ya CHAN esamba empaka za AFCON ez’abazannyi abasambira awaka musanvu be bawonye ekyambe ne badda ku ttiimu erangiriddwa okusamba empaka z’omwaka guno mu Algeria.

Arthur Kiggundu, owa Express FC, Geoffrey Wasswa ne Gilbert Obenchan aba KCCA FC ne Abdukarim Watambala ne Milton Karisa aba Vipers ssaako Derrick Ndahiro owa URA be bamu ku balangiriddwa ku ttiimu eyatandise okutendekebwa eggulo mu nkambi ng’esuzibwa ku wooteeri ya Cranes Paradise Hotel e Kisaasi.

Micho yalangiridde ttiimu y’abazannyi 35 abeesoggeddewo enkambi okutandika okwetegekera empaka zino.

Micho agambye nti obukodyo bw’alabye e Qatar gy’abadde mu World Cup, n’abazannyi bw’abalabye bigenda kwegattibwako emikisa okulaba nga Uganda eva mu kibinja omulundi ogusooka mu byafaayo by’empaka zino.

“Bye tuyize mu World Cup nga kwegasseeko omukisa nkakasa nti tujja kuva mu kibinja ku mulundi guno. Argentina nayo emikisa gya Maradona gyabayambye nnyo okuwangula era n’egya Uganda gijja kuvaayo. Wabula tetujja kuba nga Argentina eyasoose okukubwa. Twagala kuwangula gyonna nga tutandikira ku DR Congo wadde nga yaakawangula ekikopo kino enfunda bbiri era Katonda ajja kukukwatirako,” Micho bwe yawadde essuubi.

Cranes egenda kutendekebwa kumakya n’olweggulo okwongera okuwawula ttiimu.

Micho agamba nti abazannyi bagenda kubassa mu sikaani bakozese tekinologiya okumanya buli omu obusobozi bwe.

“Guno mulundi gwange gwakusatu ku ttiimu ya CHAN. Twakazannya emipiira 16, tuwangudde munaana, tukubiddwa mukaaga ne tulemagana ebiri,” Micho bwe yalambise.

Ttiimu esitula January 1, 2023 esooke ekube enkambi mu Tunisia esambeyo n’emipiira esatu egy’omukwano n’amawanga agaliraanye nga January 4,7 ne 10 ate nga 11 esambe n’emu ku kiraabu za Algeria okwetegekera embeera y’obudde eri mu Algeria.

Uganda eri mu kibiinja B ng’eggulawo ne DR Congo nga January 14, ezzeeko Senegal nga 18 ne Ivory Coast nga 22.

Abazannyi abaayitiddwa:

Baggoolokipa; Nafian Alionzi (URA), Mathias Muwanga (Onduparaka), Emmanuel Kalyowa (BUL), Joel Mutakubwa (Gaddafi) ne Jack Komakech (Vipers).

Abazibizi: Ashiraf Mandela (Vipers), James Begisa (URA), Grant Matsiko (Wakiso Giants), Derrick Ndahiro (URA), Issa Mubiru (Vipers), Arthur Kiggundu (Express), Hillary Mukundane (Vipers), Kenneth Ssemakula(Villa), Geoffrey Wasswa (KCCA), Filbert Obenchan (KCCA), Gift Fred (Villa), Bright Vuni (Arua Hill).

Abawuwuttanyi: Siraje Ssentamu (Vipers), Marvin Joseph Youngman (Vipers), Saidi Kyeyune (URA), Hussein Ssenoga (Express), Abdu Karim Watambala (Vipers), Moses Waiswa (KCCA)

Abateebi: Milton Karisa (Vipers), Ibrahim Orit (Vipers), Travis Mutyaba (SC Villa), Moses Aliro (Wakiso Giants), Kagawa Ssenoga (KCCA), Rogers Kassim Mato (KCCA), Bright Anukani (Vipers), Ibrahim Kasule (Wakiso Giants), Titus Ssematimba (Wakiso Giants), Frank Ssebufu (Wakiso Giants), Najib Yiga (Vipers), Cromwell Rwothomio (Vipers).

Micho agambye nti abazannyi babiri be bajja okusalwako ku bazibizi, baggoolokipa, abawuwuttanyi, n’abateebi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *