Munnayuganda omuggunzi w’eng’uumi Kasim ‘The Dream’ Ouma ayingiddewo mu ggwanga wakati mu kwetegekera olulwana lwe ne munnakenya Rayton Okwiri.

Ouma ne Okwiri baakulya matereke ku Boxing Day eno nga December  26, ku Lugogo Cricket Oval.

Baakuttunkira lawundi 10 mu buzito bwa Middle kiro 75 mu lulwana olusuubirwa okubaako vvaawo mpiteewo.

Luno lwe lulwana Ouma lw’agenda okusooka okuzannyira mu Uganda bukya atandika kuzannya bikonde bya nsimbi 1999.

Ajjukirwa okuteeka Uganda ku mmaapu bwe yawangula omusipi gw’ensi yonna ogwa ‘IBF World Junior middleweight title’ mu 2004 bwe yakuba Omumerika Verno Phillips n’amuleka ng’aboloogera mu miguwa.

Mu nnwana endala ezigenda okuzannyibwa, Yusuf Babu ‘The Rolling Tiger’ waakuttunka n’Omutanzania Alphonse Mchumiatumbo mu buzito bwa Heavy, David Ssemujju bumwefuke n’Omutanzia omulala Salehe Mkalekwa ku musipi gwa ABU regional Super Welter weight title, Kamada Ntege ‘Sure Fire’ ne Meddie Bukenya, Isaac Ssebuufu ne Mubarak Seguya ‘General Sensor’ balwanire omusipi gw’eggwanga mu buzito bwa ‘Light welter’ n’endala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *