Muka Sterling yavudde mu nkambi  n’adda ku butaka.

0

Raheem Sterling, ssita wa Bungereza yavudde mu nkambi bukubirire n’adda ku butaka okusisinkana mukyala we n’abaana abaabadde batidde mu nnyumba.

Ku Lwomukaaga, ababbi baamenye ennyumba ya Sterling ne babba essaawa ezibalirirwamu pawundi 300,000.

Paige Milian, 27, yasangiddwa mu nnyumba era n’atiisibwatiisibwa okukolwako obulabe.

Mu kutya okungi, Milian yakubidde bba eyabadde mu kwetegekera omupiira Bungereza mwe yakubidde Senegal ggoolo 3-0 okwesogga ‘quarter’.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *