Leero  mu World Cup: Portugal  ettunka  ne Switzerland.

0

Portugal – Switzerland, 4:00
MU mipiira gya World Cup egisembyeyo (9), gyonna Portugal eteebye. Leero, ettunka ne Switzerland nga balwana okwesogga oluzannya oluddako n’okutangaaza emikisa egituuka ku fayinolo.
Batabani ba Fernando Santos bagamba tebagenda kudda mu nsobi ze baakola mu 2010 ne 2018 bwe baabakubira ku luzannya luno. Emirundi 2 (1966 ne 2006) gye baakulembera ekibinja, baatuuka ku semi.
Mu nsiike eno, Ronaldo mw’ayagalira ggoolo ye esooka mu byafaayo ku luzannya lw’okusirisizaawo.
SHAQIRI AGOBA LIKODI
Xherdan Shaqiri ayagala ggoolo emu yenkane munnansi munne Josef Hugi (ggoolo 6) ku bakyasinze okuteebera Switzerland mu World Cup. Mu kibinja, baakwata kyakubiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *