Akulira emizannyo e Makerere asuubizza omutindo omusuffu mu mizannyo gya yunivasite.

0

Mu mizannyo gya yunivasite z’obuvanjuba ezisulirira okutandika, yunivasite ya Makerere yaakuvuganya mu mizannyo 21 era baakukiikirirwa abazannyi 220 nga ku bano 72 bakazi n’abasajja 148. Baakuvuganya mu mizannyo okuli; volleyball, basketball, taekwondo, emisinde, rugby, okuwuga n’emirala.

Peninah Kabenge, akulirira emizannyo e Makerere yategeezezza nti balina essuubi eritwala abazannyi abasingako wabula ensimbi ne zitabasobozeseza kyokka nga omuwendo gusobola okwongerwako singa bafuna ensimbi.

“Tubadde twagala okutwala omuwendo ogusingako wabula obuzibu bwa ssente. Buli muyizi agenda okwetaba mu mpaka zino tumusasulira doola 25 (mu za wano 93,000/-),” Kabenge bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti ekya yunivasite obutaba na kuvuganya wakati wa bisulo (inter hall sports competition) kibakosezza nnyo mu nnonda ya ttiimu n’enneeteekateeka endala nga beetegekera emizannyo gino.

Wadde Makerere erina okusoomoozebwa, Kabenge mugumu nti omwaka guno bajja kufuna emidaali n’ebikopo ebiwera.

Emizannyo gya yunivasite z’obuvanjuba bwa Afrika (East Africa University Games) gyakuyinda wakati wa December 16-21 ku yunivasite ya Ndejje. Makerere y’ekyakasinze okuwangula emizannyo gino ku mirundi mukaaga mu 2000, 2002, 2004, 2006, 2008 ne 2010.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *