Cote ne Klopp batakula mitwe ,Arsenal eri kituufu.

Egyasambiddwa mu Premier

  • Arsenal 3-1 Tottenham
  • Bournemouth 0-0 Bentford
  • Crystal Palace 1-2 Chelsea
  • Fulham 1-4 Newcastle
  • Liverpool 3-3 Brighton
  • Southampton 1-2 Everton
  • West Ham 2-0 Wolves.

Premier League ekyaaye, Antonio Conte atendeka Tottenham yasigadde atakula mutwe oluvannyuma lwa Arsenal okumukuba ggoolo 3-1 ate Liverpool yasudde obubonero obulala bwe yagudde maliri ne Broghton.

Kati Liverpool erina wiini bbiri zokka mu mipiira 7 gy’ekyasembyeyo okusamba mu Premier League sizoni eno.Kinajjukirwa nti sizoni ewedde Liverpool yawangula emipiira 16 ku mipiira 19 gye yasamba mu kitundu kya sizoni ekyokubiri.

Liverpool eri mu kifo kya mwenda ng’eri emabega wa Arsenal obubonero 11.Tulina okwongera ku ffoomu yaffe okulaba nga tuwangula emipiira gyaffe ate ne tuzibira bulungi bwatyo Jugen Klopp bwe yagambye.

gi bwatyo Jugen Klopp bwe yagambye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *