Abazannyi ba Uganda abaliko obulemu oluwangudde emidaali za zaabu mukaaga ,feeza 11 n’egye kikomo 28 mu mpaka za Africa eza badminton ne batandika okusaba okuweebwa omukisa  okugenda mu z’ensi yonna ezinaabeera e Japan nga November 1-6.

Akulira emirimu mu kibiina kya Uganda Basminton Association (UBA) Simon Mugabi agambye nti kati                    baalekedde olusozi gambayagala okutwala ttiimu y’abazannyi 15 abaatuukiriza ebisaanyizo okuvuganya mu mpaka z’ensi yonna omwezi ogujja.

Okutumbula omuzannyo guno mu baliko obulemu, eggwanga kyetaaga okuteekamu ensimbi kubanga abazannyi tubalina naye beeteega okubangulwa batuukane n’omutindo gw’abalala.Amawanga okuli Misiri, Ivory Coast ne Uganda ge gaasooka okutumbula omuzannyo guno.Wabula gavumenti ezo ziguteekamu ensimbi era bamaze okukakasa nti abazannyi baabwe bonna bagenda mu z’ensi yonna e Japan, Naffe singa eggwanga likola bwe lityo tujja kutuuka wala,’Mugabi  bw’ategeezezza.

Wabula agambye era nti wadde ng’abazannyi 15 be baatukirizza ebisaanyizo, UBA ekyalinda aba World Para Badminton okuweereza amanya g’aba be baagala okugenda e Japan plow balyoke batandike okunoonya ensimbi kubanga te basobola kati kumanya mmeka ezeetaagisa okusaba okuva mu Gavumenti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *