Halima Nakaayi

Omuddusi Halima Nakaayi alwana kuwangula mutwalo gwa doola mulamba mu mpaka za Lausanne Diamond League e Switzerland.

Nakaayi ye Munnayuganda yekka agenda okukiika mu misinde gya Lausanne Diamond League egy’okubeerawo enkya mu ggwanga lya Switzerland.Nakaayi waakuvuganya mu mbiro za mita 800 n’abaddusi okuli Reekie Jemma enzaalwa ya France.

Nakaayi embiro z’asembye okuvuganyaamu zibadde za Monaco Diamond League nga yamalidde mu kifo kyamukaaga ng’embiro zaawangulwa Goule Natoya enzaalwa ya Jamaica.

Empaka za Lausanne Diamond League za mulundi gwa 11 kw’ezo 13 ezirina okuddukibwa sizoni eno ng’omuwanguzi wa Lausanne Diamond League waakufuna kavu wa doola 10,000 (mu za Uganda obukadde 38), owookubiri doola 6,000 (mu za Uganda obukadde 22) owookusatu doola 3500 ( mu za Uganda obukadde 13)

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *