URA FC yetegekera sizoni empya eya 2022-2023.

0

URA  FC bagasse Ali Zzinda ku ttiimu y’ebyekikugu nga beetegekera sizoni empya eya 2022-2023.

Zzinda abadde omumyuka wa Charles Ayiekoh ku MUBS ku ttiimu y’omupiira eya yunivasite ezannya mu liigi ya yunivasite era yaliko omutendesi wa She Corporate ezannyira mu liigi ya babinywera eya FUFA Women Super League mu 2020.

Alina layisinsi ya CAF emukakasa ng’omutendesi w’ebyekikugu era on waakwongera kinene nnyo mu bazannyi ba URA ababadde batatera kubeera fiiti sizoni eziyise.

 
Omutendesi Ali Zzinda.

Yakolako ne Sam Ssimbwa mu 2016 mu Soana FC eyitibwa Tooro United mu kaseera kano.

URA FC yaakutendekebwa Sam Timbe sizoni ejja amyukibwe Baker Mboowa ne Mubaraka Kiberu owa baggoolokipa.

Sizoni ejja URA FC  erina ebiruubirirwa eby’okuwangula liigi oluvannyuma lw’okumalira mu kifo ekyokusatu sizoni ewedde ku bubonero 55 mipiira 30.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *