Express FC bamalirizza okukakasa omuwuwuttanyi wa Police FC ,Yusuf Ssozi.

0

Express yawangula ekikopo kya sizoni ya 2020 – 2021 era erwana kuddamu kintu kye kimu sizoni ejja.

Omuzannyi  ono yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri ng’ava mu Police eyasaliddwaako n’eddayo mu Big League sizoni ewedde oluvannyuma lw’okwolesa omutindo gw’ekiboggwe.

Ssozi azannyidde Police sizoni ssatu ng’ono azannyiddeko Lweza FC , Nairobi City Stars ne Paidah Black Angels.

Mu 2018, yayamba Paidah Black Angels okujja mu liigi ya babinywera wansi w’obutendesi bwa Allan Kabonge.

Ono yeegasse ku Anwar Ntege eyavudde mu Busoga United .Mu ngeri  y’emu Express FC yakakasizza James Odoch ku butendensi sizoni ejja. Express sizoni ewedde yamalira mu kyamukaaga ku bu bonero 46.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *