Petr Cech asuddewo ekifo Ky’akulira omupiira mu Chelsea.

0

Omuugagga wa Chelsea omupya,Todd Boehly ayongedde okwera abamu ku babadde bagikulira bwa kyalangiriddwa nti eyali ggoolokipa waabwe Petr Cech, abadde akwataganya ebyekikugu n’omutindo waakwabulira ttiimu.

 Ono yeegasse ku eyali ssentebe wa Kiraabu eno, Bruce Buck, Marina Granovskaia eyali akola ku by’okuleeta abazannyi mu ttiimu eno.Ensonda mu Chelsea zategeezezza nti omugagga omupya ayagala kuzimba Chelsea mu ngeri ey’enjawulo okwawukana ku ngeri eyali nnannyiniyo.

Roman Abramovich bwe yali agiddukanyaamu, Chelsea yaleese,Michael Edwards eyali akulira omupiira mu Liverpool nga kw’eyagala okutandika okuzimbira ttiimu ye.Mu ngeri y’emu Chelsea eri mu nteeseganya ne Man city okufuna Raheem Sterling.Omuzannyi ono agambibwa okuba nga takyali mu nteekateeka za Pep Guardiola era essaawa yonna bandimutunda.

Kigambibwa nti bamutunda obukadde bwa pawundi 55. Mu ngeri y’emu ,Chelsea erwana kufuna bazannyi badda mu bigere bya Antonio Rudiger eyagenze mu Real Madrid Andreas Christensen,Marcos Alonso n’abalala abaayabulidde ttiimu eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *