Ttiimu ya darts yagenze nga bagisibiridde entanda e Tanzania.

0

Eya darts yagenze bagisibiridde entanda ya kuwangula empaka.

Ttiimu ya Uganda ey’omuzannyo gwa darts yasitudde akawungeezi kolw’owakubiri) okugenda mu Tanzania okuvuganya mu mpaka z’amawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Afrika ezitandika ku Lwokutaano mu ggwanga eryo.

Ttiimu yasitudde n’abazannyi 10 okuli abakazi bana n’abasajja bataano nga beegattiddwako abalala okuva mu kiraabu endala 10 abagenda okuvuganyiza ku mutendera gwa kiraabu. James Kasumba omu ku bavunaanyizibwa ku kukwanaganya emizannyo mu NCS y’akwasizza ttiimu bendera y’eggwanga n’abasaba okuluma n’ogw’engulu okuwangula empaka zino ezizannyibwa nga June 25-26 mu kibuga Dar Es Salaam.

Uganda yatutte ekibinja ky’abantu 68 okuli; abazannyi ba ttiimu y’eggwanga, aba kiraabu wamu n’abakulembeze mu Uganda Darts Association (UDA)

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *