She Cranes wiikendi baagimalidde Namutumba mu Busoga.

0

Mu kwongera okunoonya obuwagizi, abakulira omuzannyo gw’okubaka wano mu ggwanga aba Uganda Netball Federation ku wiikendi baagitutte mu bitundu by’e Namutumba mu Busoga

Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Cranes yeetegekera mizannyo gya Commonwealth egy’omwaka guno egigenda okubeera mu kibuga Birmingham ekya Bungereza ku nkomerero y’omwezi ogujja.

Mu kwongera okunoonya obuwagizi, abakulira omuzannyo gw’okubaka wano mu ggwanga aba Uganda Netball Federation ku wiikendi baagitutte mu bitundu by’e Namutumba mu Busoga gyeyazannyidde emipiira egy’omukwano 3 ne ttiimu enooderere ku kisaawe kya Kisiki College e Namutumba.

Mu mizannyo 2, She Cranes yakubye Kisiki Select A (30-08), Kisiki select B (38-04). Oluvanyuma She Cranes yeeronzemu ttiimu 2 (She Cranes A ne B) nga She Cranes A yakubye She Cranes B (17-11).

Nga June 19, She Cranes edda Rubirizi okwongera okunoonya obuwagizi. Mu mizannyo gya Commonwealth, Uganda eri mu kibinja ekyokubiri omuli Bungereza (abategesi era abalina ekikopo kino), Trinidad and Tobago, Northern Ireland, Malawi ne New Zealand. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *