Manchester City yayanjudde omuteebi Haaland.

0

Haaland nzaalwa ya Norway yeegasse ku Man City ku bukadde bwa pawundi 51.

Kiraabu ya Manchester City ey’e Bungereza yakakasizza nti eguze omuteebi Erling Haaland okuva mu Borussia Dortmund.

Haaland okwegatta ku Man City yavuddemu Dortmund ku bukadde bwa paawundi 51 naye nga bw’ogattaka ssente za kitunzi n’ezineeyongeramu ssinga omuzannyi akola bulungi, zijja kuggweera mu bukadde 86 obwa Paawundi.

Endagaano ey’emyaka 5 Haaland gyeyataddeko omukono eraga nti wa kusasulwa emitwalo gya Paawundi 40 buli wiiki nga kimussa mu ttuluba lye limu ne Kevin De Bruyne z’afuna.

Haaland, 21, ateebedde  Dortmund ggoolo 62 mu mipiira gya liigi 67, n’ateeba n’endala 15 mu mipiira 13 egya Champions League.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *