Ttiimu y’abakazi eya Crested Cranes  eri ku fayinolo ya CECAFA.

0

CECAFA Women’s Championship

Uganda 1-0 Ethiopia

Tanzania – Burundi (guzannyibwa)

Crested Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi), yeesozze fayinolo z’ekikopo ky’empaka za CECAFA w’abakazi omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo. Ewangudde Ethiopia 1-0 ku semi ezannyiddwa ku FUFA Technical Center e Njeru mu ttuntu ku Lwokuna (June 9,2022).

Ggoolo ya Uganda eteebeddwa muyizzitasubwa Fazilah Ikwaput ng’ebula eddakiika ssatu zokka ku 30 ezoongerwa mu 90, okuggwaako. Kati Ikwaput awezezza ggoolo ttaano mu mpaka zino.

Eno sizoni ya Uganda ey’omulundi ogwokuna wabula emabega ebadde ewandukira ku semi, nga gwe gusoose okutuuka ku fayinolo.

Empaka za ‘CECAFA Women Championship’, zaatandika nga June 1, 2022. Fayinolo ezannyibwa ku Lwamukaaga (June 11, 2022), nga Uganda erinze awangula wakati wa Burundi ne Tanzania.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *