Ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde yesunga kudda na buwanguzi okuva e Tanzania.

0

Ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ egenze kwetaba mu mpaka ‘zone 3 Africa boxing Championship’ e Tanzania ng’ewaga kuda na buwanguzi.

Empaka zino zigibwaako akawuwo enkya Lwakutaano May 27 nga zakukomekerezebwa June nga 5 omwaka guno.

Abaggunzi b’enguumi 6 be bagendedde mu ttiimu eno nga basimbudde mu kiro ekikeeseza leero nga bakozesa baasi.

Yakuddumibwa kapiteeni Joshua Tukamuhebwa azannyira mu buzito bwa ‘light welter’, Isaac Zebra Ssenyange mutabani w’omugenzi Zebra Ssenyange ow’obuzito bwa Light middle, Yusuf Nkobeza (middle), Jonah Kyobe (feather), Owen Kibira (welter) n’omukyaala Teddy Nakimuli (fly).

Bali wansi w’abatendesi Patrick Lihanda ne Lawrence Kalyango kwosa manega Twaibu Mayanja.

Empaka zino zakwetabwaamu ensi 14 okuli abategesi Tanzania, Uganda, Kenya, DR.Congo, Cameroon, Sudan n’endala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *