Abakubi  b’ebikonde abaayooleddwa abeebyokwerinda battukizza olutalo wakati wa UBF (ekibiina ekitwala omuzannyo guno) ne UPBC (akakiiko akakulira bapulofeesono).

Ebibiina bino bizze biggugulana emirundi mingi, ensonga ne zituuka n’ewa Minisita w’emizannyo Hamson Obua, wabula tezinnagonjoolwa.

Poliisi n’amagye byazinzeeko ‘Paradise Gardens’ ekisangibwa e Bbira mu Wakiso, awaabadde wategekeddwa ennwaana ez’enjawulo, ne bayoola abazannyi, abawagizi n’abakungu abaasobye mu 300. Baggalidwa ku poliisi e Wandegeya, Old Kampala, Kanyanya, Nansana n’endala.

Ennwaana zino zabaddewo ku Ssande nga zaategekeddwa omu ku bazannyi, Nesta Sserunkuuma. Salim Uhuru, pulezidenti wa UPBC, alumiriza Moses Muhangi

owa UBF okuba emabega w’olukwe luno.

Uhuru yategeezezza nti wadde Muhangi agamba nti ennwaana ezaategekeddwa ku mutendera gw’ebikonde bya bakyakayiga tezaayisiddwa UBF, si kya buntubulamu

okusibisa abazannyi bo okuli n’aba ttiimu y’eggwanga.

“Buli enkoko lw’etandika okulya amagi gaayo, ng’omanya waliwo obuzibu. Nsaba abazannyi beerwaneko kuba omukulembeze ali ku UBF akiraze lwatu nti yajja kusaanyaawo muzannyo gwabwe,” Uhuru bwe yagambye n’agattako nti; Ne bwe kiba kituufu nti ennwaana tezaagoberedde mateeka, tekitegeeza kutwala baana ba banno mu kkomera.

  • MUHANGI AYANUKUDDE

Abannumiriza okusibisa abazannyibajjukire nti ebikonde si kabaga k’amazaalibwa nti buli ayagala akategeka. Ennwaana zaategekeddwa mu bukyamu kuba UBF teyaziyisizza. Bwe banaaba baakuzza omuzannyo engulu, balina okugoberera amateeka.

  • ABAZANNYI ABAAKWATIDDWA

Mu bamu ku basibiddwa ye Isaac Masembe omudaali gwa feeza mu mizannyo gya Afrika mu 2019, Joey Vegas Lubega eyawangula omudaali gwa feeza mu gya commonwealth mu 2002, Lawrence Tamale, Muzamir Ssemuddu, Isma Ssekitto n’abalala ng’awamu abazannyi baabadde basukka mu 100. “Muhangi yeerabidde nti

ebikonde nga bino bikola kinene mu kugezesa omutindo gw’abazannyi n’okulongoosa

ensobi,” Lubega bwe yagambye.

  • POLIISI KY’EGAMBA

Luke Oweyesigyire, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, yagambye bakyasunsulamu abaakwatiddwa kuba mwabaddemu abeerimbise mu bikonde nga bazzi ba misango, naddala ekibinja ekitigomya abantu ku ‘Northern by-pass’.

“Twakutte abantu abasoba mu 300, wabula ku Mmande twayimbuddeko abamu. Twagala kusigaza abamenyi b’amateeka ab’okutwalibwa mu kkooti,” bwe yagambye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *