BAABANO ABASAMBI 12 ABAGENDA OKWABULIRA MAN U NGA TEN HAG TANAKWATAMU.

0

Bya Jimmy Nteza

Ttiimu esambira mu kibinja ekikulu ekya Bungereza eya Manchester United eri mu kattu oluvannyuma lw’abasambi okwekutulamu ng’abasainga ku bano baagala kujjaabulira. Kino kiddiridde omutindo ogw’ekibogwe ttiimu eno gweyoleseza wansi wa batendesi Ole Gunna Solskjaer ne Ralf Rangnick (atendeka kati). Manchester United akadde kano enoonya mutendesi wankalakalira era nga ono wakutandika emirimu gye ku ntandikwa ya sizoni ejja wabula nga okusinzira ku bigenda mu maaso, omutendesi wa Ajax eya Budaaki Erik Ten Hag yandiba nga ye mutendesi wa Man U addako. Ono wakukola enkyukakyuka era nga siwakusangawo basambi abamu. Mu bano Ssekanolya akulambikidde abasambi 12 abasuubirwa okutambulamu ku ttiimu eno nga bano bali mu biti bibiri.

Abalina Endagaano ezigwako nga sizoni eno eweddeko, mu bano mulimu:

Paul Pogba, Jesse Lingard, Edinson Cavani, Juan Mata, Tahith Chong ne Lee Grant omukwasi wagoolo. Bano bonna tewali yafunye nteseganya na kirabbu era nga beetegefu okutambulamu ku nkomerero ya sizoni.

Ekiti ekirala kya basambi abatali basanyufu ku ttiimu era nga abasing basaba kirabbu ebakkirize batambulemu olw’ensonga nti tebafunye kadde kamala kusamba mupiira ku ttiimu esooka. Ku bano kuliko:

Anthony Martial, Donny Van de Beek, Dean Henderson, Phil Jones, Axel Tuanzebe ne Eric Bailey. Bangi ku bano akadde kano omupiira bagusambira ku ttiimu ez’obwazike gyebalaga mu mwezi gwa gatonnya.

Obasambi abalala abalumya Man U omutwe, ye munyenye yaayo Cristiano Ronaldo ne Marcs Rashford abalabika nga nabo babusaabusa okusigala kwabwe ku ttiimu eno, wadde nga Man U yagambye ssiyakutunda basambi bano nga kwogase abakyalina endagaano.

Kino kitegeeza nti omutendesi Erik ten Hag singa aneegata ku Man U, wakutandika n’omulimu gw’okuzimba ttiimu nga agula abasambi abanaamukolera ate nga kwotadde n’okuperereza abaliwo okulinyisa ku mutindo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *