NAKINKU MU KUSAMBA OMUPIIRA FAUZIA NAJJEMBA OMUMANYI? BIIBINO EBIMUKWATAKO.

0

Woyogera ku mupiira gwa bakyala mu Uganda wano, erimu ku linnya eriri ku mimwa gya bagoberezi b’omupiira guno ye Fauzia Najjemba. Ono takoma kusamba mupiira munyuvu, wabula n’amagoolo agakubira ddala era nga kino kyamuleetedde n’okugulibwa ttiimu ya BIIK Shymkent eya Kazakhstan. Naye Najjemba yani?

Fauzia Najjemba.

Ono muwala wa Hajji Zubair Kivumbi ne Hajjati Namulondo Hawa ow’eNakifuma.

Okusoma kwe.

Pulayimale yajisomera ku St. Joseph P/S, Naggalama ate neyeeyongerayo ku Mukono High School ku ddaala eriddako. Okusoma kwe kwetoloorerannyo ku kitone kye nga okusinga kyekyamusomesa mu siniya.

Yayagala atya omupiira.

Yali anyumirwa nnyo omuzannyo gwa Cricket mu pulayimale era yaguzanya nawangula n’emidaali ejiwerako wabula omusmesa gwebayita Mr Fred Mpanga yeyamwagazisa omupiira  era omupiira ogwokuwakanya ogwaliwo wakati wattiimu ya Cricket ney’omupiira yeyalaga ensi nti yalina ekitone ky’omupiira. Awo yengeri gyeyatandikamu omupiira.

Yakuza atya ekitone kyo?

Essomero lya Mukono High School eryali lifa ennyo ku mupiira gwa bawala mu myaka egyo lyamuyamba nnyo wamu n’omutendesi omugenzi John Ssemuli. Ttiimu mweyali yatwala n’ekikopo kya bawala mu 2017 ehyeggwanga nga ejjawo Kawempe Muslim.

Asambiddeko kirabbu ki?

Nga olese ku ssomero, yasambirako ku Isra Soccer Academy, Kampala Queens, nga kati yeegase ku BIIK Shymkent eya Kazakhstan.

Bani beyeegomba mu mupiira?

Mu ba Uganda, yegombanganyo Hassifa Nassuuna, ate nga ebweru, yayagala nnyo Alex Morgan owa USA.

Akaseera akakyamusingidde obulungi

Lwenasooka okuyitibwa ku ttiimu ye ggwanga mu 2018 ne lwenasooka okulinnya ennyonyi nga tugenda mu ggwanga lya Ethopia. Bino byanfula seleebbu.

Kyatunuulidde mu maaso.

Mbadde neegomba nnyo okusamba ku mupiira gw’ensimbi ebweru naye ekirooto kyatuukiridde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *