EBYA ROBINHO SSIBIRUNGI, BAMUNONYA LWA KWEKAKAATIKA KU MUKYALA.

0

Bya Jimmy Nteza

Eyaliko omusambi wa Manchester City ne AC Milan Robson de Souza eyamanyibwa nga Robinho anonyezebwa poliisi oluvannyuma lwa kooti mu ggwanga lya Italy mu kibuga kya Milan okukizuula nti yali omu ku bavubuka abataano abaakwata omukazi ekirindi mu 2017 nga bamaze okumukatankira omwenge. Robinho akadde kano ali mu ggwanga lya Brazil wabula nga omukisa gwalina guli nti, South America tekkiriza kukwata mutuuze waayo singa abeera mu nsi zaabwe. Kino kitegeeza nti Robinho alina kukwatibwa nga afulumye ssemazinga wa South America, wadde nga ne kooti ya Italy yasabye Poliisi y’ensi yonna okujjikwatirako.

Abasambi ensangi zino abalabikidde nnyo mu mize gyokukabasanya abakazi.

  • Mason Greenwood asambira Man U ali mu kuwerenemba na musango gwa kukaka mukazi kaboozi wamu n’okumukuba.
  • Benjamin Mendy gyebuvuddeko yasibibwa ku misango gyejimu.
  • Neymar mu 2019 naye yaloopebwa e Brazil ku misango egokukwata omukazi.
  • Ryan Giggs eyali omusambi wa Man u naye ali ku koligo ery’okutyobola omukyala mu byekikaba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *