OBUKODYO BWA RANGNICK BUNAZZA MAN U ENGULU?

0

Bya Jimmy Nteza

Omutendesi omuGermany Ralf Rangnick yegatta ku Man U mu mwezi oguwedde wabula nga alina eddimu ddene eryokukola okukyusa Man U gyeyasanga nga omutindo guli wansi.ku mipiira ena gyeyakatendeka, awanguddeko ebiri nakola amaliri abiri. Ono ebimu ku byeyatandikiddeko kwekukyuusa ensengeka ya bazannyi (system) nga ono asambisa 4-2-2-2 ona 4-1-3-2. Eno emuyambye okuzibira obulungi nga Man U eyayingiza nga ennyo goolo, kati yakateebwa goolo 2 mu mipiira 4.

Newankubadde kiri kiti, ate mu kuteeba Man u ekendede nga emipiira gyonna ono gyatendese, Man U ekubyeemu goolo emu ate nga erina abasambi ab’enkizo nga Ronaldo, Rashford, Sancho, ne Greenwoood. Bano era bakola emikisa mitono nnyo egyokuteeba goolo olwensonga nti omusambi Bruno Fenandes akulira ekyokuteekawo emikisa, akomawo nnyo emabega okuyamba ku basamba mu Makati.

Ensobi endala eri mu nteekateeka ya Rangnick kwekuba nti omupiira gwe tegunamanyika oba guyita mu Makati oba ku mabbali. Ateekako abasamba emabbali bangi naye nga ate systmen ye eyitira nnyo Makati ekireetera okukendeza ku mikisa egyokujjamu goolo ennyingi.

Ralf Rangnick wakuyamba nnyo Man u obutateebwwa nnyo magoolo wabula nga kyo ekyokutereeza ttiimu okujjizaayo mu kuwangula kyandiba nga ssi kya ntono, tekijja kubeera kya lubeerera olwensonga nti omupiira gw’omutendesi mulungi mu liig nga eye Germany naye mu Bungereza gwandikalubirizibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *