Bya Jimmy Nteza

Ku myaka 33, Sergio Kun Aguero yanyuse omupiira. Kino yakikoze tayagala wabula embeera y’obulamu bwe yeyamukase. Ono abasawo bakizuula nti omutima gwe gukubira kumukumu ekisuse era nga kiba kitegeeza nti omutima gwe teguli mu nteeko, nga alina kuva ku mupiira okukendeza ku mikisa gyokukosebwa. Ono abadde yakeegatta ku Barcelona nga ava mu Man City wabula nga tafunye mukisa gujisambira. Aguero ateebye goolo 427 mu mipiira 786 ku ttiimu 4 zasambidde.

Byakoze mu mupiira.

  • Aguero  wakuna ku basambi abasing okuteeba goolo za liigi ye Bungereza 184 mu mipiira 275.
  • Ateebyye goolo mu buli dakiika 108 mu Pulimiya.
  • Ateebye goolo essatu (hat-trick) emirundi 18. 12 ku zo za Pulimiya.
  • Ateebye nga goolo 20 n’okusoba emirundi 12/13 mu Manchester City
  • Yateeba goolo 36 eza champions liigi mu Manchester City
  • Ateebye kirabbu 128 zasaambye.
  • Yasembyeyo kuteeba Real Madrid mu October wa 2021.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *