MAGOGO OKULWANIRIRA EBYEMIZANNYO AKUTUTTE MU PAALAMENTI, ATEEKATEEKA BBAGO.

0

Bya Jimmy Nteza

Omubaka omulonde owa Budiope East Moses Magogo ate nga y’emukulembeze w’ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga ekya FUFA, yawereddwa akadde okuteekateeka ebbago erikwata ku byemizannyo erya “National Sports Bill” nga lino lyakuyambako okuddabulula enzirukanya ye bibiina n’ebyemizannyo byonna okutwaliza awamu.

Mu bbago lino, Magogo ayagala ekibiina ekya National Council of Sports kikyusibwe era kyeyubule olwo kiyitibwe Uganda Sports Commission kivunanyizibwe ku kutwala ebibiina by’omupiira byonna awatali kusosola. Mu birala ebbago lino ligendereddwamu kuyambako ebyemizannyo m by’ensimbi n’okuteekawo obukiiko obwokuddukiramu okumalawo endoolito mu byemizannyo. Mu Uganda, ebyemizannyo byabagirwa mu tteeka lya 1964 erya National Council of Sports nga kino Magogo alaba nga lirudde okuzibwa obuggya ate nga binji ebikyuse.

Omubaka Sarah Opendi owe Tororo n’omubaka Geoffrey Kayemba Ssolo owe Bukomansimbi eyamaserengeta bebasembye ebbago lino. Olvannyuma lwa kaseera akokuwummulamu, Magogo wakuddayo mu Paalamenti ayanjule ebbago lino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *