DDALA ABATENDESI ABANGEREZA TEBALINA WAAKA?

0

Bya Jimmy Nteza

Ensangi zino abatendesi okuva mu ggwanga erya Bungereza bakubibwamu nnyo ebituli olw’ensonga nti ssibawanguzi. Nga otunuulidde omutindo gwa batendesi bano mu liigi ez’enjawulo nga kwotadde eya Bungereza yennyini, babadde tebakola bulungi ate nga n’ebikopo ebirala eby’ensi era bano tebalabikako.

Mu byafaayo abatendesi bangi abawangudde ku kikopo kya liigi enkulu eya Bungereza mu mirembe egyayita nga tenatuumibwa Premier liigi naye okuva mu 1992 lweyatuumibwa bwetyo, tewali mutendesi mungereza yali ajitutteko. Mu byafaayo by’ekikopo ky’ensi yonna, omutendesi Alf Ramsey ye mungereza yekka eyawangula ku kikopo kino mu 1966 era nga yakitwalira Bungereza yennyini. Teri mungereza yali awangudde ku mpaka za Euro. Ate eza Champions liigi, abatendesi babiri bokka okuli Bob Paisley eyakitwalira Liverpool emirundi 3, ne Brian Clough eyakitwalira Nottingham Forest emirundi 2. Mu kikopo ekya Europa, teri wadde omungereza eyali asinyizaako ku kikopo kino.

Abatendesi okuva mu ggwanga lya Spain, Italy, Germany bebasinga okukwata akati ensangi zino nga ne mu liigi ya Bungereza, Pep Gurdiola (Spain), Jurgen Klopp (Germany) ne Jose Mourinho (Portugal).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *