EBYAMA LWAKI ARTETA AYAGALA WENGER AKOMEWO KU ARSENAL.

0

Bya Jimmy Nteza

Omutendesi wa Arsenal Mikel Arteta yalaze nga bwayogereganya n’eyali omutendsi wa Arsenal emyaka 22, Arsene Wenger ku ky’okumukomyawo ku kirabbu mu kiti ekirala kyonna wasobolera okuyambako ku Arsenal n’okujiwa ku magezi . Kino kidiridde oluvanyuma lw’omupiira gwa gyo tiimu ya arsenel mweyakubiddwa tiimu ya man u bwebaludde nga tebalima kambugu era omupiira guno gwakomekereza nga MAN U 3 ate ARSENEL 2 . Arsene Wenger ow’emyaka 72 akadde kano yakulira enteekateeka z’okulakulanya n’enkyukakyuka ez’omupiira mu FIFA wabula nga emabegako, yalaga nga bweyandyagadde okuddamu okutendekako wadde nga teyalaga wa wakutendeka. Arteta agamba nti ye nga omuntu ayogerezeganya ne Wenger era nga ye omuntu, yandyagadde nnyo Wenger amuwenga ku magezi mu ngeri gyaddukanyamu omulimu gwe ogw’obutendesi.

Mikel Arteta yaweebwa obutendesi mu December 2019 nga asikira Unai Emery ate nga era Arteta yasambirako wansi wa Arsene Wenger okumala emyaka 5 era nga yali na kaputeeni. Ye Wenger yatendeka Arsenal okumala emyaka 22, emipiira 1235, najiwangulira ebikopo bya FA 7 n’ebya liigi 3.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *