ALEX GITTA ALEESE OMUTINDO KU WAKISO GIANTS, YERALIIKIRIZA TTIIMU ENNENE.

0

Bya Jimmy Nteza.

Mu mipiira 6 , Wakiso Giants ewanguddeko 4, naye nga gino gyonna gyamuddiringanwaera nga omutendesi Alex Gitta bukyanga akwatamu ku kirabbu ya Wakiso Giants oluvannyuma lwokuvaawo kwa Douglas Bamweyana, emipiira gye gyonna ajiwangudde. Ono weyakwatira ku ttiimu eno, yasanga Wakiso Giants ekubiddwa emipiira gyombi ejjagulawo okwali ogwa KCCA ne Vipersera nga yeyali esembye, wabula kati eri mu bifo ebivuganya ku kikopo nga KCCA ne Vipers bebakyajikubye akaga. Gitta amanyi agatadde ku bintu bibiri omuli okuzibira obulungi nga yakatebwamu goolo emu, ate nga n’okuteeba abasambi be batereezamu nga mumipiira ena akubyemu goolo 8. Ono agamba nti okwekiririzaamu kwekubayambye okutereeza omutindo gwaabwe. Gitta agamba nti sizoni eno atunuulidde okuteekawo okuvuganya n’okusigala mu liigi enkulu eye ggwanga. Abasambi nga Titus Ssematimba, Edward Satulo, Frank Ssebuufu, nabalala. Eggulire lino liwandikiddwa nga Wakiso Giants tenazannya Express.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *