LWAKI UGANDA EREMEDDWA OKUKIIKA MU Z’ENSI YONNA, BIBIINO EBYAJIREETEDDE OKUKOLA OBUBI.

0

Wadde nga Uganda emalidde mu kyakubiri mu kibinja E ekyakulembeddwa Mali, Uganda yalemeddwa okukiika mu kikopo ky’ensi yonna era nga kino tekyetaba ngamuko. Wadde nga ekibinja kya Uganda kyalabika nga ekitali kizibu nnyo, Uganda erina ensonga nnyinji ezajiremeseza okumenya ebyafaayo era nga zezino.

Okusuula abasambi ab’enkizo. Mu bano mwemuli Farouk Miya, Saim Jamal, William Luwagga Kizito, Nicholas Wadada nabalala nga kwogase abagunyuka mu kiseera omukulembeze wa FUFA Ying Moses Magogo weyavulugira abali basambye empaka za CHAN.

Okukyusa abatendesi. Wadde nga Milutin Sredijovic amannyi ttiimu ya Uganda, ttiimu abadde yakajjegattako nga alina okuleeta ennono eyiye ate nga kyabadde kizibu okukikolera mu kaseera akatono ak’empaka zino.

Okukyusakyusa abasambi. Abasambi bangi abasambye empaka zino nga kumpi buli mlundi babadde bakyusibwa. Waliwo abayitwa omulundi ogumu nebatadda nga Derrick Nsibambi, Joseph Ochaya nabalala nga kino kiretedde omutendesi obutabeera na ttiimu yankalakalira.

Olugoba oluteebi lubulamu. Wadde nga mumpaka zino tuteebyemu goolo 3 nga zonna za Fahad Bayo, ekyooto kibuliramu ddala obukujjukujju mu kuteekawo emikisa n’okuteeba amagoolo.

Omutindo gwa Mali. Wadde nga Kenya yatuwadde obuzibu natukozesa amaliri abiri, Mali yo ebadde ya mutindo kubanga mu mpaka zonna ekoze amaliri ga mulndi gumu gwokka nga Uganda neweyandibadde nnungi, kyandijjizibuwalidde okutuuka omutindo gwa Mali.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *