Baabano abasambi abatondose nga bali ku kisaawe

0

Christian Eriksen (2021). Omuwuwuuttanyi wa Denmark ow’emyaka 29, yatondose nga asambira ttiimu y’eggwanga ng’ezannya Finland nga 12/6/2021. Eriksen yagudde yekka era nga yayambiddwa abasawo ababadde ku kisaawe okukozesa ebyuma ebisika obulamu okukomawo era nga yamaze eddakiika 6 nga obulamu busirise. Akadde kano akubye ku mattu era nga asuubira okutereera amangu ddala.

Fabrice Muamba (2012). Nga asambira kiraabu ya Bolton Wanderers eye Bungereza, Muamba 33, yatondoka ku kisaawe nga asambira ttiimuye nga ezannya Tottenham mu mpaka za FA. Ono yafa okumala eddakiika 78, olwo nalyoka adda engulu. Ono teyaddamu kusamba mupiira okuva olwo.

Bafetimbi Gomis. Ono yatondoka nga kwotadde okuzirika emirundi ejiwerera ddalaessatu nga asambira ttiimu ez’enjawulo okuli Swansea City, Galatasary ne Al Hilal jakubira kati. Okwawukanako n’abalala, ono ekikye ssi kya mutima, wabula kiva ku bintu bingi nga okusinduukirirwa, kantolooze n’ebirala.

Marc Vivian Foe (2003). Foe omukameruuni yatondoka mu mpaka za Confederation nga 26/6/2003 nga bazannya Columbia ku luzannya oluddirira olwakamalirizo e France. Ono yaffa oluvannyuma lw’essaawa emu wadde ng’abasawo baakola ekisoboka okumutaasa. Yali asambira Westham.

Cheick Tiote (2017). Ono weyali mu kwegezaamu ku kiraabu ya Beijing Enterprises, yatondoka n’agwa era mu kaseera katono n’afiirawo. Kino kyava ku mutima gwe okwesiba era abasawo abaliwo baagezaako wabula negugaana era naafa.

Miklos Feher (2004). Ono yali mu Hungary wabula nga asambira Benefica era ku mupiira nga bazannya Victoria Gumaries mu mwezi ogusooka, yafuna okulemererwa kw’omutima era n’agwa wansi, abasawo n’ebamutaasa era ne bamuddusa mu ddwaliro. Yamalawo eddakiika 90 zokka era n’afA

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *