Abasambi abalina enkizo okuwangula Balon d’or

0

Balon d’or kye kirabo ekisinga amaanyi ekiweebwa omusambi asinze banne okusamba omupiira mu nsi yonna era nga kigabibwa okuva mu mwaka gwa 1956. Kino kigabibwa okusinziira ku nkola y’omusambi ssekino era Ssekanolya akusuunsulidde abasambi abalina enkizo okuvuganya ku kiraabo kino.

Lionel Messi. (Barcelona ne Argentina). Mu 2021, Goolo 34, Ayambyeko 14.

Yandiba nga abadde ne sizoni etali nnungi, naye asigala musambi wanjawulo ye nga ssekinoomu. Awangudde ekikopo kya Copa Del Rey ne Barcelona era ng’ayoleseza omutindo omulungi ku Argentina mu Copa America nga yakulembedde abateebi ne goolo 4. Awamu ateebye goolo 34, ayambyeko emikisa ejivuddemu goolo 14 mu 2021.

Roberto Lewandowski. (Bayern Munich ne Poland) Mu 2021, goolo 34, Ayambyeko 4.

Omutindo gwe ggwanga lye erya Poland tegubadde mulungi mu Euro naye nga y’omusambi abadde mulungi kuba ateebye goolo 3. Awangudde Bundesliga ne Club World Cup ku Bayern Munich.

N’golo Kante. (Chelsea ne France).

Omuwuwuuttanyi Kante wadde nga teyeetaba nnyo mu bya kuteeba, naye amakati ge gabadde ga nkizo nnyo sizoni eno era nga gayambye Chelsea okuwangula Champions League.

Romelo Lukaku. (Inter Milan ne Belgium) Mu 2021, goolo 22, ayambyeko 7.

Ayambye Inter Milan okuwangula ekikopo kya Liigi oluvannyuma lwe myaka 10, ate ne ku Belgium mu Euro ateebye goolo 4 wadde nga baaviiriddeko ku luzannya lwa kwota.

Kylian Mbappe. (PSG ne France), Mu 2021, goolo 29, ayambyeko 7.

Mbappe sizoni eno awangudde Coupe de France ne Trophees des Champions era nga newankubadde nga empaka za Euro tezimutambulidde bulungi, omutindo gwe gubadde gwa nkizo.

Abasambi Cristiano Ronaldo ne Kevin de Bryne nabo bali ku mwanjo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *