Peace Proscovia alondeddwa ku bumyuka bw’omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’okubaka (She Cranes) eyagenze mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup e Bungereza.
Abadde kapiteeni wa She Cranes okuva mu 2014 era nga yagiduumira mu World Cup ya 2015 mu Australia n’eya 2019 e Bungereza.
Yagituusa ku bwakyampiyoni bwa Afrika emirundi ebiri (2017 ne 2018), agitutte mu mizannyo gya Commonwealth emirundi ebiri (2018 ne 2022) n’empaka endala ez’ensi yonna endala nnyingi.
She Cranes yabadde yaakusitula ku Lwomukaaga akawungeezi okugenda mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup e Bungereza kyokka viza ne zikeerewa nga ne we bwazibidde eggulo zaabadde tezinnafunibwa. Ku Lwokusatu lwe balina okwegezaamu ne Wales mu kibuga Cardiff.
E Bungereza, She Cranes yaakubbinkana ne bannyinimu, Australia ne New Zealand wakati wa January 20-28 e Wembley ne Leeds. Mu November w’omwaka oguwedde
ekibiina ekifuga okubaka mu nsi yonna (World Netball Federation, WNF) kyalonda Peace ku kakiiko ak’ekiseera ak’abantu bana okumalawo endooliito mu kibiina ky’okubaka mu ggwanga (Uganda Netball Federation). WNF era ye yamulonze okumyuka Fred Mugerwa, atendeka She Cranes. Peace Proscovia y’ani? Azaalibwa mu Arua. Wa myaka 34 ng’aweza ffuuti 6.4. Yakazibwako ‘Warid Tower’ olw’obuwanvu. Azannyira nsimbi mu Surrey Storm ezannyira mu liigi ey’oku ntikko e Bungereza. Ye Munnayuganda eyasookera ddala okuzannyira ensimbi mu Bulaaya. Yatandikira mu Loughborough Lightning.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *