Pulezidenti wa FUFA ayogedde ku entegeka za CHAN.

0

Bannnayuganda bafunye omukisa okuwagira ku bazannyi ba Cranes oluvannyuma lwa CAF okugikkiriza okutegeka eza CHAN (eza Afrika ez’abazannyira awaka) w’omwaka ogujja. Uganda yaakwegattibwako; Kenya, Tanzania ne Zanzibar mu mpaka ezinaazannyibwa September omwaka ogujja.
Wallace Karia, akulira omupiira mu Kenya, ye yasoose okukakasa bino mu ttabamiruka w’ekibiina ekitwala omupiira e Tanzania bwe yategeezezza nti CAF yakkiriza amawanga agagenda okutegeka AFCON 2027 gasookere ku CHAN.
Gye buvuddeko, Uganda, Kenya ne Tanzania mu mukago gwabwe ogwa PAMOJA, zaaweebwa olukusa okutegeka AFCON era okutegeka CHAN kye kimu ku bigenda okuziyamba okweteekateeka ssaako okulaga CAF oba nga galina obusobozi obutegeka AFCON. Ensonda mu FUFA zaategeezezza nti kituufu empaka zino zaakutegekebwa wano kyokka pulezidenti waayo (FUFA), Ying. Moses Magogo y’ajja okutegeeza eggwanga ensonga ezo.
Amawanga aganaategeka gaakutuula gasale amagezi ku ngeri y’okutegekamu empaka zino. Ng’amawanga gano tegannaweebwa kutegeka AFCON, CAF yali erangiridde Kenya okutegeka CHAN wabula n’ekyusa ng’eyagala amawanga gano galage obusobozi.
Okusoomooza okuliwo
Uganda tennafuna kisaawe kituukana na mutindo gwa CAF nga n’emipiira gyayo gyonna ebadde egizannyira mu mawanga malala. Namboole ne St Mary’s Kitende ekya Vipers bye byandibaddewo kyokka Kitende kyagaanibwa ate Namboole ekyaddabirizibwa.
Wabula minisita w’emizannyo Peter Ogwang yategeeza gye buvuddeko nti mu March w’omwaka ogujja Namboole asuubirwa okuba ng’awedde. Uganda yeetaaga ebisaawe ebisukka mu 2 ebizannyirwamu n’ebirala ttiimu mwe zinaatendekerwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *