Association of Uganda University Sports esattira.

0

Ng’ekibiina ekifuga emizannyo gya yunivasite mu ggwanga “Association of Uganda University Sports (AUUS)” kyetegekera okujjaguza emyaka 30 egy’obwetwaze mu Uganda, kibakanye n’eddimu ly’okunoonya ettaka aw’okuzimba Offiisi z’ekibiina okuwona obubudamu.

Kiddiridde Ndejje University ebadde yababudamya ku bizimbe byayo ebisangibwa ku kibanja nnamba 254 ku luguudo lwa Balintuma e Mengo, okugaana okuzza obuggya endagaano y’obwasseruganda (MOU) gye babadde bateekako omukono mu 2012.

Endagaano eno ebadde ekulungudde emyaka 10 nga AUUS yeeyambisa ebizimbe bya Ndejje okuddukanya emirimu gyayo ku bwereere, mwalimu akawaayiro k’okugizza obuggya wabula Ndejje yeeremye nga kati AUUS yaakunoonya ekibanja ewalala oba okukkiriza batandike okusasula buli mwezi oba buli mwaka gwe basigala mu bizimbe bino.

Ekyama kino kyabikkuddwa pulezidenti wa AUUS Peninnah Kabenge mu ttabamiruka w’omwaka eyatudde ku Uganda Christian University e Mukono, abakiise bonna mwe bakkaanyirizza, batandike okusasula ez’obupangisa nga bwe banoonya ettaka eryabwe bazimbe amaka.

Kabenge yeebazizza nnyo obukulembeze bwa Ndejje University obubabudamizza emyaka 10 emabaega nga tebasasula za bupangisa, ate n’asaba abakiise okukwatira awamu okulaba nga bafuna ettaka n’okusolooza ez’obupangisa mu myaka egiddako okutandika ne 2024.

“Ndejje University yasazeewo tutandika okusasula ez’obupangisa oba okuva mu bizimbe, tusuubira okusasula obukadde obutakka wansi 65 okutuusa nga tuguze ettaka eryaffe,” Kabenge bwe yategeezezza.

Mu ngeri y’emu, abakiise baafunye akaseko ku matama ssaababalirizi w’ebitabo bya AUUS CPA Thomason Kwizina ng’ali wamu n’omuwanika w’ekibiina Paul Mark Kayongo okubawa amawulire amalungi nti ennyingiza y’ekibiina yeyongeddeko enjawulo ya bukadde 600 okuva ku bukadde 380 n’edda ku 949.

Kwizina yakakasizza nti ekiviiridde kino ye Gavumenti eyayongezza ssente z’ewa AUUS okuva ku bukadde 93 okudda ku 736. Kuno kw’ossa empaka ez’enjawu okuli; FASU Championship ezaayingiza obukadde 14, University Games obukadde 19, ekiyambyeko ekibiina n’okusasula amabanja agatakka wansi wa bukadde 49.

Ono yakubirizza ekibiina okulwana okulaba nga Uganda yeeyongera okufuna empaka eziri ku ddaala lya Afrika, obuvanjuba n’ensi yonna kuba wano AUUS efunamu okusinga okufumya ttiimu okugenda okukiika ebweru w’eggwanga.

Kabenge yennyamidde olwa yunivasite okuli, St. Lawrence, Nkumba, Uganda Martyrs Nkozi, Muni, IUEA ne Kampala International University ezitaakiikiriddwa. Yunivasite 19 ku 25 eziri wansi wa AUUS ze zaakiikiriddwa mu ttabamiruka ono

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *