Owa Netball Federation ayimbuddwa ku kakalu.

0

Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi kyaddaaki eyimbudde ku kakalu president w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka ekya Uganda Netball Federation, Babirye Kityo Sarah ku misango egy’okubulankanya ensimbi z’ekibiina.

Ayimbuddwa ku kakalu kansimbi obukadde 7 ez’obuliwo, wabula nga wakuddamu okulabikako mu kkooti nga 6 December, okwongera okwenyonyolako.

Babirye Kityo Sarah avunaanibwa okulemwa okuwa embalirira y’ensimbi 186 ezaawebwa ttiimu y’eggwanga eya She Cranes, okukiika mu mpaka za Pent Series ne Africa Netball Championships ezaali e Namibia mu November wa 2021.

Ku Thursday nga 30 November,2023 Babirye Kityo Sarah lwe yasimbiddwa mu kkooti n’asomerwa emisango egiwerako gyeyegaanye.

Munamateeka wa Babirye Kityo Sarah Joseph Luzige agambye nti mukakafu nti omuntu wabwe talina musango, era nti ensonga ze zandiba nga zirimu eby’obufuzi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *