Napoli yeepimye mu Inter.
![](https://endibbasports.com/wp-content/uploads/2023/12/Napoli.jpg)
Inter Milan y;ekulembedde liigi y’e Yitaale naye terina w’enywera ku tuzzi ,
Esinga Juventus obubonero 2 bwokka era ensobi yonna gye bakola, Juventus ebayisaako eggaali.
Napoli olwokaano lwa liigi teruliimu nnyo sizoni eno olwa Inter okugisinga obubonero 8 naye bw’eba eyagala okudda mu kintu erina kwekubira Inter yennyini.
Mu Champions League ku Lwokusatu, Inter yavudde emabegga ggoolo 3 okukola amaliri ne Benfica sso nga Napoli yakubiddwa Real Madrid (4-2).
Nga Napoli bw’enoonya okufunza Inter ku ntikko , erina okukimanya nti n’ekifo kya Champions League Ky’erimu waliwo abakyagala.
Napoli esinga Roma obubonero 3 ate nga Roma gw’ezannya wiikendi eno, akubika.