Ebya Rooney bikyali bizibu.
![](https://endibbasports.com/wp-content/uploads/2023/11/Wayne-Rooney.jpg)
Abawagizi ba Birmingham batandise okwebuuza lwaki abakulira ttiimu yaabwe baakansa eyali omuteebi wa Man U . Wayne Rooney ku butendesi.
Bagamba nti omukulu ono asana kugobwa kuba bukya ajja , tebafunanga ku mpeke ya ssanyu . Rooney akubiddwa emipiira 4 ku 5 gy’abadde mu mitambo gya ttiimu eyo ng’ekinene ennyo kye yabakoledde , ge maliri ga (2-2) ne Ipswich.
Abawagizi baagala Rooney akwatibwe ku nkoona nga ttiimu yaabwe tennakkirira mu bifo bya ttiimu ezisalwako.
Mu kiseera kino bali mu kya 18 ku bubonero 19.