Brig. Byekwaso alabudde abaagala okweyawula ku muzannyo gw’okubaka.

0

Abakungu b’omuzannyo gw’okubaka baziriridde Brig. Gen. Flavia Byekwaso omukolo gw’okusiima abazannyi ba sizoni ewedde n’abakontola “tetuweereza kubaka lwa Sarah Babirye Kityo, Byekwaso oba omulala yenna, twewale ebya nnwaniraako, tukkirize nti by’akaseera ate tukolere wamu omuzannyo guwangule,”.

Ku wiikendi Gen. Byekwaso eyaakalondebwa minisita w’ebyemizannyo n’ebyengigiriza mu ggwanga Janet Museven okukola nga pulezidenti w’okubaka ow’ekiseera ng’adda mu bigere bya Babirye Kityo eyasabiddwa addeko ebbali okumala akaseera akatali kagere, yategese omukolo okusiima bannamuzannyo ab’enjawulo ku Climax e Makindye.

Ng’oggyeeko Rosette Namuli Kaala akiikirira Kampala ku lukiiko lw’okubaka, Ronald Mudhasi ow’obuvanjuba, Sarah Nkonge Muwonge maneja wa ‘The Rock’ ttiimu y’abasajja ababaka, abakungu n’abakiise abalala tewali yalabiseeko.

Mu ngeri y’emu n’abakungu ba ttiimu z’okubaka ezisinga obungi mu liigi ya babinywera wadde ez’ebibinja ebya wansi tebaatawaanye kujja wadde okuweereza abazannyi.

Prisons abalina ekikopo kya sizoni ewedde ye ttiimu yokka eyasitudde abazannyi baayo bonna, abatendesi n’abakungu okubeerawo, National Insurance Corporation (NIC), Makindye Weeyonje, Uganda Christian University ne KCCA zaakiiriddwa wakati w’omuntu omu ku bataano, ezisigadde tezaatawaanye.

Byekwaso yasabye obumu bukomewo mu muzannyo, yakoowodde abazirakisa okubadduukirira basobole okufuna amaka g’ekibiina bawone okupangisa, n’asaba abakungu ba ttiimu ez’enjawulo okuteekateeka obulungi abazannyi basobole okweyimirizaawo mu biseera nga bannyuse okubaka n’asuubiza okulwana okulaba ng’okubaka tekudda mabega.

Okwawukanako ne sizoni eziyise nga UNF ewa ebirabo abazannyi ssekinnoomu, abatendesi, abakungungu n’abakozi ba sizoni abasukkulumye, omulundi guno kino tekyalabise okuleka okukwasa ebikopo ttiimu essatu zokka ezaawangula liigi essatu.

UGISA yakwasiddwa ekikopo ky’ekibinja ky’okubirib kye yawangudde sizoni ewedde, WOB n’ekwasibwa ekya liigi y’abasajja ey’oku ntikko ate Prisons Netball Club n’esitukira mu ky’abakazi ekya ‘Super’.

Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko akategeka liigi y’eggwanga ey’okubaka Micheal Kakande, sizoni empya 2023/2024 esuubirwa okuggyibwako akawuuwo nga October 27, 2023.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *