Cranes eyise Mali mu gw’omukwano nga beetegekera eza World Cup.

0

Nga FUFA ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga kikyanoonya omutendesi wa Cranes omuggya, kirangiridde omupiira ogw’omukwano wakati wa Uganda ne Mali okuyambako abazannyi okufuna okugezesebwa nga bwe balinda World Cup.

Mu November, Uganda yaakutandika okuzannya emipiira gy’empaka ez’okusunsulamu amawanga ga Afrika agalyetaba mu z’ensi yonna ezisuubirwa okutegekebwa Mexico, Canada ne America wakati wa June ne July 2026.

Mu z’okusunsulamu, Uganda yaakuvuganyiza mu kibinja G omuli; Algeria, Guinea, Mozambique, Botswana ne Somalia.

Okusinziira ku FUFA, Uganda egenda kuzannya omupiira gw’omukwano ne Mali nga October 13, 2023 mu kisaawe kya Stade du 26 Mars mu kibuga Bamako ekya Mali.

Wiiki bbiri emabega FUFA yakutte ku nkoona abadde omutendesi wa Cranes Milutin Sredojevic amanyiddwa nga Micho olw’omutindo ogw’ekiboggwe Uganda gwe yayolesezza mu z’okusunsulamu ttiimu ezigenda okwetaba mu kikopo kya Afrika (AFCON 2024) mu Ivory Coast.

Uganda yasubiddwa okumalira mu bifo ebibiri ebisooka mu kibinja F ebya ttiimu ezaabadde zirina okuyitawo okwesogga AFCON bwe yamalidde mu kyakusatu n’obubonero 7 bwokka emabega wa Tanzania (8) ne Algeria (16) eyakulembedde ate Niger n’ekoobera ku bubonero bubiri.

Mu kiseera kino abatendesi 245 be baakewandiisa nga basaba omulimu gwa Uganda Cranes eri FUFA wabula ku bano, babiri bokka be bannayuganda abasigadde bava mu mawanga g’ebweru.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *