Okukyaza empaka za AFCON  kya kuyamba Uganda – Museveni.

0

Pulezidenti Yoweri Museveni eyozaayozezza amawanga ga East Africa omuli Uganda, Kenya ne Tanzania okutuuka ku kkula ery’okukyaza ekikopo ky’omupiira eky’ensi empanguzi mu Africa ekya Africa Cup of Nations (AFCON) 2027 .

Asinzidde ku mukuu ggwe ogwa X (eyayitibwanga Twitter) n’ategeeza nti kya kuleeta enkulaakulana naddala mu byobulambuzi

Asiimye bonna abakoze ennyo okulaba ng’ensi zino zonsatule zifuna omukisa ogw’okutegeka empaka zino.

Museveni yeegattiddwaako abakulembeze abalala nga Sipiika Anita Amon, Katikkiro wa Uganda Robbina Nabbanja, Omumyuka wa Sipiika, Thomas Tayebbwa n’abalala bangi abaayozaayozezza Uganda okuba erimu ku mawanga agagenda okutegeka AFCON 2027.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *