Eyaliko omutendesi wa Cranes era omu ku baagizannyira ng’etuuka ku fayinolo y’empaka za Afrika e Ghana, Barnabas Mwesiga afudde n’ennyiike ku mutima.

Mwesiga y’omu ku baayamba Cranes okutuuka ku fayinolo y’empaka za Afrika mu 1978 ne bakubwa Ghana (2-0). Yafiiridde mu ddwaaliro e Nsambya ku Lwokubiri akawungeezi oluvannyuma lwa ffamire ye okumutwalayo nga teyeewulira bulungi.

Tufiiriddwa omu ku bannabyamizannyo abatadde ettoffaali ku mupiira mu ggwanga ng’ayita mu kuguzannya n’okugutendeka ku mitendera egy’enjawulo,” Isaac Luggya, omu ku b’abadde akola nabo mu kibiina kya Sports Outreach, ekiyamba abaana abatalina mwasirizi bwe yategeezezza.

Muwala w’omugenzi, Barbra Kembabazi yagambye nti omulambo gwakutwalibwa mu Lutikko ya All Saints e Nakasero enkya okumujjukira olw’ebirungi by’akoze oluvannyuma gutwalibwe e Rutooma Mbarara gy’anaaziikibwa.

Omugenzi abadde abeera Kireka zooni C. Bwe yannyuka omupiira, yatandika ogw’obutendesi, mwe yatendekera ttiimu ez’enjawulo okuli ne Cranes. Ye yali mu mitambo gya ttiimu eyattunka ne Cameroon mu z’okusunsulamu eza Afrika mu 1987.

Mu kampeyini eno, Cameroon yawangula Cranes (5-1) ewaayo mu March wa 1987, kyokka bwe badding’ana e Nakivubo nga Cranes yeetaaga ggoolo 3-0 okuyitawo, yazifuna nga wabula eddakiika mbale guggwe, kooci Mwesiga n’akola enkyukakyuka mu ttiimu ezaaviirako Cameroon okuteeba ggoolo eyakutula Cranes n’eremwa okuyitawo gye byaggweera ng’agobeddwa.

Afudde yeekokkola abamunenya nti ku mulundi ogwo ye yalemesa Cranes okuyitamu sso ng’abamu ku bo be baamuwaliriza okukola enkyukakyuka ezo ku ttiimu eyo bwe baamusindikira obubaluwa nga baagala akyuse ttiimu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *