Bannabyamizannyo n’abatuuze abalala mu Lukaya Town Council e Kalungu baguddemu ekyekango munnaabwe bw’asangiddwa ng’afiiridde ku buliri mu nnyumba mw’abadde asula.

Okusinziira ku Meeya wa Lukaya Town Council Charles Tamale, eyafudde ye Ashiraf Matovu 25, ng’abadde mutuuze mu Kakooza Cell, gye yasangiddwa mu muzigo gw’abadde apangisa nga mufu ku Lwokutaano akawungeezi.

Mmeeya Tamale yannyonyodde nti abamu ku Matovu baabaddenga azannya nabo mu ttiimu ya Lukaya FC, be baazudde nti mufu oluvannyuma lw’okumulinda ku kisaawe nga talabikako nga n’essimu ye tagikwata nti etaabadde nkola ye.

Yayongeddeko nti bano baawaliriziddwa okugenda mu bifo byonna gye baabadde bamusuubira nga taliiyo ne basembera gy’abadde asula ng’eno baasanze oluggi lusibire munda ekyabaleetedde okwekengera ne bawalirizibwa okulumenya kwe kumusanga ku buliri nga mufu ne bategeeza poliisi, era ono yalaze obwennyamivu eri ekitundu okufiirwa omuntu abadde n’ekitone eky’omugaso n’agamba nti bababadde bamusuubiramu bingi.

Photo credit:bukedde

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *