Sizoni ewedde Liverpool yalemwa okumalira mu bifo ebina ebisooka mu sizoni omusanvu  Jurgen Klopp z’amaze ku kiraabu eyo.

Ekizibu ekisinga kyabadde mu mmidi era Klopp yatunze abasambi bangi okuli Jordan Henderson , Fabinho, James Milner , Alex Oxlade ne Naby Keita bonna baagenze.

Liverpool etaddemu ssente bw’esaasaanyizza obukadde  $115m ku Alexis Mac Allister ne ssita wa Leipzig Doinik Szoboszla ng’ezaako okuziba ebituli evuganye sizoni eno.

Newankubadde tebaakubwa mu mipiira  11 egy’asembayo naye abakugu balaga nti mmidi ya Liverpool eya  sizoni ewedde ebadde nkoowu nga tekyasobola kuvuganya ku bikopo nga bwe kyali okuva mu sizoni ya 2019/20.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *