Omutendesi atenderezza omutindo gwa She Cranes.

0

Omutindo omulungi omuzibizi wa She Cranes, Christine Nakitto gwe yayolesezza gwawadde omutendesi Fred Mugerwa essuubi nti si baakujulirira Joan Nampungu ne Sandra Nambirige abataliiwo.

Nakitto abadde tazannyangako mpaka ziri ku mutendera gwa nsi yonna kyokka ku mupiira gwa New Zealand, yalaze nti ttiimu eno eri mu World Cup y’okubaka e South Afrika, teyakola nsobi okumuleeta.

She Cranes yakubiddwa New Zealand ggoolo 54-44 kyokka nga Nakitto yabadde mpagiruwaga. Nakitto y’omu ku baayambye She Cranes okubba emipiira ku ssenta wa New Zealand n’abakugira okukuba Uganda olukunkumuli lwa ggoolo.

Omutendesi wa New Zealand, Dame Noeline yatenderezza omutindo gwa Uganda n’agamba nti ttiimu eno yabatunuzza ebikalu. Oluvannyuma lw’omupiira ogwo, Mugerwa yategezeezza nti abazannyi be balina obusobozi okukuba buli ttiimu wadde nga tebalina bumanyirivu nga aba ttiimu endala.

“Ng’oggyeeko emipiira egy’omukwano ebiri gye tuzannye ne Scotland ssaako Barbados, twavudde mu Uganda ng’abazannyi bange beegezezzaamu na balenzi. Ttiimu y’abalenzi yawadde She Cranes okuvuganya kwe yeetaaga,” Mugerwa bwe yagambye.

Nakitto yategeezezza nti okuzannya ttiimu ennene nga New Zealand kyamwongeddeko kinene wadde nga waliwo abaabadde balowooza nti ajja kutiribira. “Abazannyi b’amawanga ag’amaanyi nabo bantu nga ffe era bakubika. Basuula emipiira nga naffe bwe tugisuula ndowooza mwabalabye nga tubazannya.

Tulina okwezzaamu amaanyi n’essuubi,” Nakitto bwe yagambye. Eggulo, She Cranes yattunse ne Trinidad and Tobago mu lutalo lw’okulwanira ekyokubiri mu kibinja D.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *