Abazannyi ba Uganda beesunga mpaka za Africa Para Badminton.

0

Abazannyi ba badminton ey’abaliko obulemu ewangudde omudaali gwa feeza gumu n’egy’ekikomo munaana mu mpaka za Uganda International Para Badminton ezimaze wiiki emu nga giyinda mu Lugogo Indoor Arena.

Harriet Nakayima ye yawangudde feeza mu mpaka ezeetabiddwaamu abazannyi okuva mu mawanga 29 okuli aga Afrika, Bulaaya, Asia, Amerika ne Australia.

Abazannyi ba Buyindi bazzeemu okweriisa enkuuli mu mpaka zino bwe baawangudde emidaali gya zaabu 13, feeza 11 n’egy’ekikomo 10 ate Korea n’ewangula zaabu ssatu ne Spain bbiri.

“Kituufu batusinga obumanyirivu kuba beetaba mu mpaka buli kiseera naye naffe tweranyeeko kuba omwaka oguwedde, nawangula gwa kikomo,” Nakayima bwe yategeezezza.

Wabula abazannyi ba Uganda bonna bati beesunga za Africa Para Badminton ezitandika enkya ku Lwakubiri era mu Lugogo Indoor Arena mwe bagamba nti balina obusobozi okuwangula emidaali gya zaabu egiwera.

“Naffe tugenda kulaga kye tulinawo ku mutendera gwa Afrika,” Sarah Nazziwa omu ku baawangudde ogw’ekikomo bwe yategeezezza.

Uganda eyingizza abazannyi 41 mu mpaka zino okusinziira kw’akulira emirimu mu Uganda Badminton Association (UBA), Simon Mugabi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *