Mubarak amenyekedde mu z’e Fort Portal.

0

 

Amaziga geesoose empaka za ddigi eza laawundi ey’okuna 4 ku kalenda y’eggwanga, musaayimuto Mubarak Ssennoga Mayanja bw’amenyese emikono gyombi n’okugulu kwa ddyo oluvannyuma lwa ddigi okumukuba ekiggo wakati ng’ali mu kutendekebwa okwetegekera empaka zino.

Ssenoga okumenyeka abadde ku kisaawe kya Kyakaigo mu kibuga Fort Portal empaka zino ezimanyiddwa nga ‘Mountain Dew Motocross Championship’ gye zigenda okuyiribira ng’abavuzi balwana okufuna obubonero obubateeka mu bifo ebisava ku ngule za ddigi ez’enjawulo.

Ono ye kyampiyoni w’engule y’omutendera gwa MX 85 omwaka oguwedde (2022) ate ye nnamba bbiri wa MX 85 mu z’omu buvanjuba n’amasekkati ga Africa (East and Central Motocross Championship).

Omwaka guno abadde yalinnyisizza omutindo ng’avuganyizza mu mutendera gwa MX 125.

Oluvannyuma lw’empaka ez’emirundi esatu gy’abadde yaakavugako ku kalenda ya sizoni eno, ali mu kifo kyakuna ku bubonero 75 emabega wa Jeremiah Mawanda (121), Waleed Ali Omar (128) ne Milton Akaki akulembedde ku 166.

Ssenoga yalongooseddwa okugulu ne kuteekebwamu ebyuma ate emikono gyombi gyasibiddwaako ekiseminti nga bwe yeekebeggyebwa abasawo okutuusa ng’ateredde.

Empaka z’eggwanga eza laawundi eyookuna ku kalenda ya ddigi (Mountain Dew Motocross Championship) zaakuyiriba ku Ssande eno (May 28, 2023) ku kisaawe kya Kyakaigo mu kibuga Fort Portal.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *