Kisenyi  esitukidde mu sseddume w’ente.

0

Ttiimu ya Kisenyi II e Luzira esitukidde mu sseddume w’ente n’ekikopo oluvannyuma lw’okuwangula empaka z’abavubuka ng’ekubye Luzira Stage IV.

Empaka zino zimaze ebbanga lya myezi ebiri nga zizannyibwa n’ekigendererwa eky’okugatta abavubuka mu muluka gwe Luzira baleme kwenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga zino zaategekeddwa ssentebe waabwe Joshua Ssekiwunga.

Omupiira gwatandikidde wakati mu bugombe ng’abawagizi ba ttiimu zombi bawaga kyokka eddakika 90 zaagenze okuggwaako nga balemaganye (0-0) olwo ne gugenda mu kusimulagana peneti.

Kisenyi II yawangudde ginaayo eya Luzira Stage VI ggoolo 4-2. Eza Kisenyi zaateebeddwa kapiteeni waabwe Daniel Bajole, Julius Ojok , Geofrey Ssali ne Aga Ano Keita ate eza Stage VI ne ziteebwa Daniel Dante Apenyo ne Tonny Balayo.

Oluvannyuma Kisenyi II yakwasiddwa sseddume w’ente, ekikopo n’emidaali ate Luzira Stage VI n’eweebwa 100,000/- n’emidaali. Ssekiwunga yategeezezza nga bwe balina ebiruubirirwa eby’okuzuula ebitone mu bavubuka n’okulaba nga babakuumira wamu nga beewala obumenyi bw’amateeka obw’engeri yonna.

Abeetabye ku mupiira guno kwabaddeko; ssentebe wa FDC mu Nakawa, Moses Mugisha Okwera, sipiika w’e Nakawa, Godfrey Luyombya ne kkansala wa Luzira, Peter Muyombya n’abalala abaakuutidde abavubuka okwenyigiranga mu mizannyo kibayambeko okutumbula ebitone byabwe.

Empaka zino zeetabwamu tiimu 21 okuva mu byalo ebikola omuluka gw’e Luzira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *