Prisons eleese amanyi mu z’okubaka eza East Africa Netball Championships.

0

 Kiraabu ya Prisons ne NIC zongedde okussa Uganda ku maapu mu mpaka z’okubaka eza kiraabu empanguzi mu Buvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Championships eziyindira mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

Prisons nga kati ewezezza emipiira essatu  gye yaakawangula mu mpaka zino kyokka yasiitaanye okumegga Ulinzi eya Kenya ku ggoolo 49 ku 30.

Ekitundu ekisooka kyawummudde Prisons ekulembedde ku ggoolo 26 ku 11 wabula mu kitundu ekyokubiri omuteebi wa  Prisons  Christine Namulumba yasinzizza abazibizi  ba Ulinzi ensumika okukakkana nga Prisons ewangudde omupiira ogwokusatu mu mpaka zino ku ggoolo 49 ku 30.

Prisons ye kiraabu yokka etannakubwamu mu kibinja ekyokubiri (B) ky’ekulembedde n’obubonero mukaaga.

Bannayuganda abalala abaabadde mu nsiike mu kibinja ekisooka aba NIC nabo baamezze KJT eya Tanzania ku ggoolo 56 ku 46.

Mu mpaka zino eza East Africa Netball Club Championships ezaatandika ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde zikomekkerezebwa ku Lwamukaaga lwa wiiki eno mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

Mu mpaka zino Uganda yakiikiriddwa kiraabu ttaano nga ez’abakazi kuliko; Makindye Weyonje, NIC ne PRISONS ate ez’abasajja ye Kampala University ne WOB.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *