Liigi y’ebikonde by’eggwanga etandisse na muliro.

0

Liigi y’eggwanga ey’ebikonde eya UBF Boxing Champions League etandikidde mu bbugumu.

Sizoni ey’okubiri etandise mu kiro ekikeesezza leero ku Ssande ku MTN Arena e Lugogo n’ennwana 21.

Mu zimu ku nnwana ezibaddeko vvaawo mpiteewo Brolline ‘Stylist’ Bruce Kimbugwe owa COBAP Boxing Club akubye Richard Kasujja owa Lukanga Boxing Club ku bubonero 5-0. Ababadde battunkira mu buzito bwa Light Middle kiro 71.

Joshua Tukamuhebwa kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ amezze Innocent Amoko owa UPDF ku bubonero 5-0 mu buzito bwa Light welter. Wasswa Ssali owa Lukanga Boxing Club akubye Jimmy Adriko tonziriranga mu lawundi ey’okusatu mu buzito bwa ‘Light’ kiro 60.

Mu nnwana endala Ronald Gayita owa COBAP akubiddwa Shafic Mawanda owa Nakawa, Brenda Muduwa namegga Maria Nankya ku bubonero 3-2, Adam Jamdali owa UPDF nakuba Ronnie Wandera owa Zebra n’endala.

Moses Muhangi pulezidenti wa UBF ekibiina ekitwala ebikonde y’omu ku babaddewo liigi ng’etandika mw’ategereezza nti okuvuganya okw’amaanyi mu bazannyi kwakufuula sizoni eno eya vvaawo mpitewo. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *