Abazannyi betegeekera  mpaka za Beach Woodball World Cup.

0

Laawundi esooka ey’empaka ez’okusunsulamu ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa woodball egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka z’ensi yonna eza woodball w’oku lubalama lw’ennyanja eza Beach Woodball  World Cup ekomekkerezeddwa ku Bunjakko Beach e Mpigi – Buwama n’abawanguzi ab’enjawulo.

Ronald Mulindwa okukulembera omutendera gw’abasajja yakung’aanyizza obubonero 173, Robert Mutibwa mu kyokubiri n’obubonero 178, Israel Muwanguzi kyokusatu n’obubonero 179, Micheal Musasizi 182 ate Moses Agaba Ali ku 183.

Omutendera gw’abakazi gwakulembeddwa Joan Mukoova n’obubonero 179, Christine Birungi kyakubiri n’obubonero 188, Florence Mukooya kyakusatu n’obubonero 195, Jackie Nawula kyakuna n’obubonero 200 nga Lilian Zawedde ali mu kyakutaano n’obubonero 204.
Abazannyi 12 nga kuliko abasajja mukaaga n’abakazi mukaaga abanaasinga okukola obulungi be agenda okukiikirira eggwanga mu mpaka za Beach Woodball World Cup ez’omulundi ogwokusatu ez’okubeera mu Pahanga ekya Malaysia okuva nga July 26-31.

Abazannyi abeetabye mu mpaka zino ez’okusunsulamu nabo bawera kulaba nga babeera ku ttiimu egenda okukiikirira  ggwanga mu Malaysia omwaka guno. Mukoova yategeezezza nti musanyufu n’omutindo gwe yataddewo mu laawundi eno era nga mugumu nti waakubeera ku ttiimu egenda e Malaysia.

“Okuzannya woodball okumala ebbanga kimpa enkizo okusinga ku bazannyi abalala. Njagala mu laawundi eddako nkedeeze ku bubonero bwe nfunye bwe nasobola okuvuganya obulungi nga ntuuse e Malaysia,” Mukoova bwe yategeezezza.

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa woodball mu ggwanga kyakutegeka empaka z’okusunsulamu za mirundi ebiri ng’ezisembayo zaakubaawo nga April 15.
Empaka zino zaasemba kutegekebwa wano mu 2019 nga Uganda yamalira mu kifo kyakubiri nga zaawangulwa Chinese Taipei.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *