Ssimbwa atabukidde abateebi ba Kitara.

0

Kiddiridde Kitara okukola amaliri ga 0-0 ne Northern Gateway FC mu mupiira gwabwe ogwagguddewo ekitundu kya sizoni ya Big League ekyokubiri ekyagyiddwaako akawuuwo ku Lwokuna lwa wiiki eno n’emipiira musanvu.

Guno gw’abadde mupiira gwa Ssimbwa gw’asoose okubeera mu mitambo gya Kitara FC bukya agyegattako mu butongole nga February 4, 2023 ng’omutendesi waabwe ng’adda mu bigere bya Mark Twinamatsiko eyakwatibwa ku nkoona olw’ebigambibwa nti yali adibaze ttiimu n’okutemaatema mu bazannyi.

“Omutindo gw’abateebi gubadde wansi nnyo, obwedda emikisa bazannyiramu mizannyire, siyinza kikkiriza nti Northern Gateway esembye wansi etulemesezza okugiteebamu wadde ggoolo emu bweti, amaanyi ng’enda kugateeka ku bateebi  okubaggyamu omwasi,” Ssimbwa bwe yategeezezza.

Abazannyi ba Kitara abapya okuli; George Ssenkaaba ne Godfrey Lwesibawa baagezezaako okuteekawo emikisa omuva ggoolo naye nga Northern Gateway esibye enkokoto.

Paul Mucureezi omu ku bazannyi abapya teyasobodde tuzannya mupiira guno olwa layisensi okukerewa wabula omutendesi yategeezezza nti ensonga zikolebwako era ensiike eddako bamusuubira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *